OMUKAZI OMU N'A BASAJJA 8 BAKUWANIKIBWA KU KALABBA
Abatemula Omuwala Suzan Magara baakutibwa
SML NEWS
August 5, 2026
1 views
2 min read
EYASALA KU MUWALA ENGALO NAMUTTA KKOOTI NAYE EMUWADDEYO ATTIBWE…..
Gabadde maziga mereere na naku mu kkooti enkulu Mu Kampala omulamuzi Alex Mackay Ajiiji bwakalize abasajja 8 n’omukazi omu ku kibonerezo ekyakalabba n’okusibwa amayisa olwokutemula omuwala Suzan Magara eyattibwa mu mwaka gwa 2018,
Omusango guno oguludde nga guwulirwa gwakomekerezeddwa olunaku lweggulo era leero enjuyi zombi zikedde kulindirira bibonerezo oluvanyuma lwabawawabirwa okusingisibwa omusango guno mu kkooti yeemu.
Omulamuzi Alex Mackay Ajiiji era ebyobugagga byabavunaniddwa byonna bitundibwe ensimbi ezinavamu zidizibwe abenganda z’omugenzi Suzan Magara eyattibwa mubukambwe enyo.
Abagenda okuwanikibwa ku kalabba ye Hajara Nakandi ne Musa Abaas Buwembo agambibwa nti yeyasaba bazadde bomugenzi omutemwa gwabuwumbi 3 obutatta muwala wabwe nebamuwerezaako obukadde 700 enkeera nabawereza ebaasa omwali engalo bbiri zeyali atemye kumuwala wabwe ngabagamba bwebatawereza zibulako omwana wabwe wakutibwa.
Tewayita kaseera nebatemula omuwala omulambo negusulibwa webagusanga. Oluvanyuma Police nabebyokwerinda okuva mubutongole ebirala batandika omuyiggo ku battemu bano nebabazuula era okukakana nga babatutte mu kkooti gyebamaze emyaka 8 ngabawoza omusango guno.
Olunaku lwegulo omulamuzi yakanyiza nabawabi ba gavumenti nti ddala bano bebatta omuwala Suzan Magara mu bukambwe era nagubasingisa leero nabasalira ebibonerezo.
Yusuf Lubega yeyatekateeka olukwe lwonna Kyoka Musa Abaas Buwembo yeyasalira ddala obulago kumugenzi. Magara yali muwala w’omusubuzi John Magara ne Immaculate Magara.
Omuwala ono eyali omubalagavu era omusanyufu enyo yawambibwa February nga 7 nebamukuuma okumala ennaku 20 ngabasaba omusimbi bamuyimbule bwebalemwa nebamutta nga February 27,2018. Okumanya bano baali battemu nyo bakwata no kattambi nga bamutemako engalo ebbiri nebabiteeka ku flash nga vidiyo nebawereza bazadde be mu bbaasa ngababalagira banguyeko ensimbi ngatanatibwa. Bazadde mukupakukirira basonda obukadde 700 era nebazitwala abatemu webali babalagidde Kyoka kino kyanyiiza abatemu nga bagamba bali banyomeddwa okuweebwa sente entono era kwekuzitwala ngabakukuluma oluvanyuma nebatta omuwala.
Oluvanyuma bagula ebyobugagga nga emottoka,ebibanja namayumba okwejja mubwavu nga eno ensi bwewunikiridde olwekikolwa kino. Oluvanyuma poliisi yabalinya akagere nefunako omu era ono yeyayalonkoma banne bonna nebakwatibwa.
Sabiiti eno yonna ebutikiddwa emisango gyobutemu omuli ogwa Suzan Magara,Sarah Nantongo muwala wa General Katumba Wamala saako eyali omuwabi wa gavumenti Joan Kagezi.
Emirala gikyagenda mu maaso.